Okuva 3:16 – 4:17 “Okutumwa Kwa Musa”

Bwe tweetegereza mu nzivuunula kansangwawo, olunnyiriri olwo lugamba “Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri awamu, obagambe nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikidde ng’ayogera nti Mbajjiridde ddala, ndabye bye mukolebwa mu Misiri: Bwe twejjukanya Yusufu bye yalaamiriza mu Lub. 50:24,25 zigamba nti “Yusufu n’agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n’okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Yusufu n’alayiza abaana ba Isiraeri ng’ayogera nti Katonda talirema kubajjira, nammwe mulitwala amagumba gange nga mugaggya muno.
Tulaba nga by’ebigambo by’ennyini kyenkana Mukama by’akozesa oluvannyuma lw’emyaka egisoba mu 400! Okkakasa obutereevu bw’ebigendererwa by’ekigambo kya Mukama. Nti byonna biba nga bw’abigamba okuba, nga bwe tweeyongera okulaba okakasa Musa….