Nga twongera okusomesebwa ku biragiro Mukama bye yawa Musa ebyenzimba nenteekateeka zemirimu gyomu Weema Entukuvu, mwe tuyigirizibbwa bingi nnyo okuva mu ssuula 25, kwebyo byonna ebyaali ebyokussa mu Weema munda, ebyokugizimbisa nenzimba yayo, ebyomuluggya lwayo, awamu nebyennyambala ya Bakabona, nemikolo gyokwawulwa kwaabwe.
Leero tutandika okulaba okuwunzikibwa kwebiragiro bino mu ssuula eyasatu, omuli ebiragiro ku kkolebwa kwekyoto ekyobubaane nemirimu gyakwo; ekiweebwaayo olwokwetangirira; ebbensani eyekikomo enaabirwamu; amafuta agokusiiga nenkozesa yago; awamu nebyakaloosa akokwooterezanga ku Kyoto ekya zzaabu.