Okuva 29, “Okwawulwa Kwa Bakabona.”

Tweyongera amakya ga leero, mu nsomesa yekigambo kya Mukama mu kitabo kyOkuva ekyawandiikibwa Musa, mu kitundu mwe yaweebwa ebiragiro Mukama Katonda, ku nteekateeka zokumusinzangamu, ngali ku lusozi Sinayi.

Omulundi ogwaggwa twalaba bwe yalagirwa okkola ebyambalo byObwakabona, ekkanzu eyitibwa Efodi, Ekyomukifuba, nekkanzu endala awamu nempale ezomunda, mwe twaayigira nti mu Yesu Kristo tulina ekyambalo ekyekitiibwa nobulungi kubanga tuli ba Kabona ba Mukama, nga I Peetero 2:9,10 bwe zigamba.era nenyiriri eziddako ne ziwa okuluŋŋamizibwa kwobuvunaanyizibwa bwaffe.

Default image
admin