Okuva 28 “Mu Yesu Kristo Tulina Ekyambalo Eky’ekitiibwa N’obulungi.”

Nny.1-2 Mukama alagira Musa okwawula Alooni ne batabani be okumuweereza nga bakabona.

Bakabona baalina omulimu ogwokukiikirira abantu eri Katonda ate nga bakiikirira ne Katonda eri abantu era nga mu Isirayiri bakabona baavanga mu kika kya Leevi; muno mwe mwaava Alooni ne Musa.

Katonda ye Katonda wa buli muntu naye aba nobuvunaanyizibwa obwenjawulo eri buli muntu gwatonda era nga buli alokolebwa alina obuvunaanyizibwa era ayawulibwa olwovunaanyizibwa obwo.

Katonda ayise buli mukkiriza okuba nomulimu mu bwa Kabaka bwe era nga atuwa obusobozi obukola ebyo byatuyitidde okukola.

Bwe yali ayita Pawulo Omutume ne Balunabba yalagira baawulibwe (Ebikolwa ByAbatume 13:1-3).