Okuva 25:9 – 26 “Weema Entukuvu Y’okubeerwa Kwa Mukama Katonda II.”

Mu kweyongera kwaffe amakya ga leero okulaba okuteekateekwa nokulagirirwa Musa kwe yaweebwa Mukama Katonda eri okussaawo ekifo mu massekkati gaabwe we banaamusisinkananga, oluvannyuma lwokulaba omulundi oguwedde bwe yasooka okubalagira okuwaayo kyeyagalire eri buli kineetaagwa mu mulimu guno, nemitima omujjudde okwagala nobuwulize gyaali, kikisobozese okuba ekifo kye banaatongoza okuba ekitukuvu gyaali nga Mukama Katonda waabwe era Kabaka waabwe.

Omwo mwe tweetegerereza nti okuwaayo nokweewaayo eri Mukama kiba kyegayalire so si mu kusikirizibwa birala oba balala, wabula okwagala Mukama, ekireetera okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.