Oluvannyuma lwokuwa Musa amateeka, awamu nokuba nentabagana nabakulembeze ba Isirayiri ku lusozi Sinayi, mu kweyongera okweyolesa eri abantu be abalonde, tulaba nga Mukama Katonda alagira Musa okuteekateeka ekifo ekinaaba ekyenkalakkalira mwe banaamusisinkanga, okuba nentabagana naye era nga Yye bwe yali Kabaka waabwe, okussaawo olubiri lwe mu bbo, ngera nga bwe baali abatambuze abaakozesanga zi weema, naye abe ne Weema Entukuvu mu masekkati gaabwe. Mwanneeyolesezanga okuba mu bbo, olwokuba bakwaata amateeka ge era nga bamwaagala nnyo nga bwe yalagira.
Ekitulaga nti obuwulize oba obugonvu eri Mukama Katonda waffe tekimala, atwaagaza okumusinza, ne Yesu kye yakkaatiriza mu Yokaana 4:23,24 Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga. Katonda Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.
Essuula ekkumi nomukaaga zetutandika leero zirambika ekyo mu buluŋŋamu bwa Mukama obutereevu era nga mu Baebbulaniya 9, tunnyonnyolwa bulungi nga bwe byaali ebyeetaago byendagaano enkadde eyetteeka, ebyaatuukirizibwa Yesu Kristo mu ndagaano empya eyekisa ekisukkulumu.