Omulundi ogwaggwa mu kusomesebwa kwaffe, twavaawo n’okusoomoozebwa eri obweetaavu bwaffe okuwuliriza eddoboozi n’okuluŋŋamizibwa kwa Mukama okwangu gyetuli, tuleme kubeera mu mbeera z’obumisiri emyaka emingi ko.
Nate ne tulaba obweetaavu bw’okubeera mu ddungu, tusobole okuyigirizibwa, okuleetwa okumanya Mukama, kitusobozese okuyitibwa Ye, okusinga okweetuminkiriza okutuukiriza okuyitibwa kwe, kwe tweewulira mu ffe.
Amakya ga leero mu kweyongerayo kwaffe, tulabe “Okuyitibwa kwa Musa”, nga bwe twaasuubizibwa oguwedde, tusoma okuva we twaakoma mu ssuula 2:23-25 nti……