Amakya ga leero, nga tweyongera mu kusomesebwa okuva mu kitabo ky’Okuva, eky’okubiri mu Baibuli, era ekyawandiikibwa Musa, nga bwe twaalaba oguwedde, tuli mu ssuula ey’okubiri etubuulira mu bufunze ku buzaalirwana n’obulamu bwa Musa. Omusajja omu ku basinga ettutumu ku nsi kuno, amanyiddwa nga mukwano wa Mukama Katonda, olw’okuganja kwe yalina n’eggulu, okumubeesa ekifaananyi eky’enkalakkalira ekya Yesu Kristo mu ndagaano enkadde, olw’okuba nabbi, omununuzi, omuwi w’amateeka, era omwegayirizi w’abantu ba Mukama Katonda.