Mu lugendo lw’abaana ba Isirayiri okuva e Misiri leero tutuusibwa lwe batuuka mu kutuukirizibwa kw’ekyo Mukama kye yeeyamira Musa ng’amutuma oggenda okubaggyayo, we yamugamba mu ssuula 3:12 nti….. “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti Nze nkutumye; Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.”
Era ekiseera kye banaamala mu kifo kino mu ddungu lye Sinaayi mwe muli ebyawandiikibwa byonna okuva ku ntandikwa y’essuula eno 19 okutuukira ddala mu Kubala 10:10, ng’oyitidde mu kitabo Ky’Ebyabaleevi, ekiseera Mukama mw’akolera endagaano ne Isirayiri ng’abawa amateeka mwe banaamusinzanga awamu n’okutabagana naye.