Okuva 14 – 15 “Okuluŋŋamizibwa Mukama Mu Buwanguzi Obumuweesa Ettendo N’ekitiibwa.”

Omulundi ogwaggwa ku mulamwa “Okuba aba Mukama, n’okuluŋŋamizibwa Yye”, twaalaba bwe  kiri ekiyitirivu ennyo, nti Mukama atwelondera n’atuwa enkizo olw’enteekateeka z’abatweetaaza okuba ababe, ate mu kubeera ababe n’atutambuza mu makubo g’atwaagala okutambuliramu okutuukiriza ebigendererwa bye ffe okuba ababe, ng’ekigendererwa ekisinga obukulu kwe ku musinza nga Mukama w’obulamu bwaffe.

Bwe tweyongerayo we twaaleka Mukama abaggye mu Misiri nga bali ku njegooyego z’eddungu, tusoma mu ssuula 14:1-14 nga bwe tweetegereza nti…….

Ensonga lwaki Mukama yali abayisa mu kkubo lino gye yabayisa kwe kugezesa n’okkakasa okukkiriza kwaabwe mu Yye. Awamu n’okw’egulumiza eri Abamisiri.

Amakulu g’okulokolebwa kwaffe gava mu kkakasibwa kw’okukkiriza kwaffe. Kubanga awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda