Okuva 13 “Okuba Aba Mukama, N’okuluŋŋamizibwa Yye”

Mu ssuula yaffe ey’olwaaleero, ey’ekkumi nassatu tulaba ebiragiro Mukama bye yawa Isirayiri; Okutukuza bawonge abasooka baabwe bonna gyaali, okukakasa okujjukiranga okununulwa kwaabwe okuva mu Misiri, nga mu kkikola bakuza embaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, okutegeezanga obulungi ezadde lyaabwe kw’ebyo byonna, Okuwaayo eri Mukama ebisolo ebisooka okuzaalibwa, era n’okukinnyonnyola abaana baabwe. Ne tulaba n’okulabirirwa kwa Isirayiri nga Mukama abaluŋŋamya mu lugendo, n’okwettika kw’amagumba ga Yusufu ogaggya mu Misiri nga bagenda mu nsi ensuubize.