Okuva 12 “Okuyitako”

Oluvannyuma lwa Mukama okusalira Misiri ne bakatonda b’ayo omusango emirundi mwenda, kuluno nga ne Falaawo, olwaasooka eyabuuza “Mukama y’ani mmugondere, nzikirize Abayisirayiri oggenda ommusinza”(5:2), amumatidde kyaali…nti wadde yali akakasizza Musa nti lwaaliddayo okumusisinkana ajja mutta, twaaleka Mukama ategeezeza Musa nti ekibonoobono kimu eky’akabi ennyo kye kyaali kigenda okuwalizisa Falaawo ayimbule Abayisirayiri, awamu n’abantu be, n’okubeegayirira babeegayirire okwaamuka Misiri.

Era ku luno, Mukama n’alagira Isirayiri okukyeeteekerateekera mu ngeri y’omukolo ogulikuzibwa emirembe gyonna, ogw’okuyitako, ogw’amakulu amayitirivu ennyo olw’enfaananyirizo ey’amaanyi gwe gulina ku Mukama waffe era Omulokozi w’ensi y’affe Yesu Kristo. Ogwaakwaatibwa n’embaga ey’Emigaati Egitali mizimbulukuse, nayo eyali ey’okkuzibwa emirembe gyonna ne ]uno gujja