Amakya ga leero, tweebaza Mukama atutuusizza mu mweezi omuggya ogw’omunaana, omwaka 2017, ng’era tutandika emisomo mu kitabo ky’Okuva, gye tunaabanga nagyo ku lunaku lwa Mukama.
Ekitabo kino kiyitibwa ekitabo kya Musa, era nga bwe tunaalaba ebyaamu byeyongerezebwa bwongerezebwa ku by’omu kitabo ky’Olubereberye kye twasomesebwa omwaka ogwaggwa. Nga bwe kiri nti Musa ye yawandiika ebitabo ebitaano ebisooka mu Baibuli, ate nga kino ky’ekitabo ekyogera ku buzaale bwe.
Ekitabo, Okuva, kyogera ku Mukama okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri, gye baali bazaalidde ne bawera bangi nnyo. Baatiisa Abamisiri, baakozesebwa kajiri ne bayisibwa ng’abaddu olw’obungi bwabwe. Nga Mukama bwe yali yasuubiza jjajjaabwe Ibulaimu mu Lub. 15:13,14. Kyogera ku byaaliwo nga tebannava mu Misiri; n’ebyaaliwo mu lugendo lwabwe nga bali mu ddungu; awamu n’endagaano Katonda gye yakola nabo ku Sinaayi. N’amateeka ge yabawa nga bamusinza gatandikira mu kitabo kino.