Okubala 5 – 6 “Twasonyiyibwa Ne Tutukuzibwa”

Ng’omukyala bweyatwalibwanga ewa kabona okukasa oba ayonoonye oba okumwejjereza, naffe tuyina Kabona waffe Yesu Kristo amanyi byona, amanyi endowooza zaffe, byetwonoonye, byetulemeddwa. Naye eky’enjawulo nti Ye taliwo kukasa oba twonoonye wabula yajja okutusonyiyisa ebibi byaffe eri Mukama Katonda.

Yokaana 3:17 “Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.”