Okubala 3 – 4 “Engeri Y’Okuwereza Mukama”

Mukama buli omu yamuwa ekyokukola okusinziira kubusobozi bwe ate era yabaluŋamyanga mu ngeri y’okukikolamu. Bali tebabikolera bakulembeze babwe wabula bali babikoleranga Mukama. Naffe bwetutyo twetaaga okuluŋamizibwa mubuwereza obwenjawulo nemumirimu egyenjawulo gyetuba tuwereddwa.

Obuwerezebwa bwamuwendo naye n’engeri gyetuwerezamu nayo yamuwendo. Nolwekyo tuleme kuwereza lwakuba tuwereddwa ebitone wabula tuwereze mubwetowaze era mubutukirivu.