Danyeri 6:1 – 5 “Okusaba Okuwanguzi. I”

We tutuukira mu ssuula ey’omukaaga y’ekitabo kya Danyeri, ge massekkatti g’akyo, mwe tweyongera okulaba Danyeri atugerera ebyo ebyawandiikibwa ottumanyisa Mukama Katonda nga bwaali ow’ekitiibwa, n’ekisa, omw’esimbu era ow’amaanyi, omwagalwa ennyo. Ottuleetera ommwaagala, ommutya, n’okumukkiririzaamu nga bwe by’ogerwako mu Baebbulaniya 11:33,34a nti “olw’okukkiriza abo be baawangula obwakabaka, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, be baabuniza obumwa bw’empologoma, be baazikiza amaanyi g’omuliro,…..” ng’era ebyo bye bimu ku bikakasa obuggumivu bw’ekitabo kya Danyeri. Abavubuka abasatu Hananiya, Misaeri ne Azaliya baasuulwa mu muliro olw’obutayonoona eri Mukama mu kikolwa ky’ekibi, ate ne Danyeri n’asuulwa mu bunnya bw’empologoma olw’obutalekeraawo kkola kituufu kye yalina okkola mu butuukirivu, Mukama n’abalokola, ne biwandiikibwa ottuzangamu amaanyi emirembe gyonna mwe tulindirira Mukama Katonda okutuukiriza okwagala kwe kwonna gyetuli nga tumwesigira ddala.