Danyeri 2:46 – 3:15 “Mukama Katonda Wa Bakatonda Ye Yekka Agwaanidde Okusinzibwa.”

Nga tweyongerayo we twalekera mu ssuula 2, lwe twasemba okusomesebwa mu kitabo kyaffe eky’omulamwa omwaka guno buli lunaku lwa Mukama, ekya Danyeri. Twaleka Danyeri amaze okubikkulira Kabaka Nebu. Ekirooto kye n’amakulu gaakyo mu butuufu, nga bwe twaalaba kw’olwo, era wadde tetwamalayo ssuula mu butali bwegenderevu bwange, kyokka ate nakiraba nti kigwaanidde nnyo okuluka ennyiriri ezisembayo ku ssuula ey’okusatu, weewaawo tuleme kuzireka naye okusinga nga tuweebwa obulambukufu bw’ekifaananyi ky’omulamwa gwaffe ogwa leero nti “MUKAMA KATONDA WA BAKATONDA YE YEKKA AGWAANIDDE OKUSINZIBWA.”
Tulaba amazima ago mu byawandiikibwa byaffe mwe tusomesebwa, nti wadde amangu ddala nga Kabaka Nebu. Eyali alina obufuzi obwasinga okwaatiikirira yali yaakakyaatula, teyalwa kkyeelabira, ng’era osanga bwe guba eri ffena ng’abantu.