Abakkolosaayi 1:24 – 25 “Obuweereza Obutuukiriza Mu Kristo Yesu.”

Oluvannyuma lwokulaba mu kusomesebwa kwaffe okwaggwa omulundi guli mwe twasemba okusomesebwa mu kitabo kyaffe, ekyebbaluwa ya Paulo Omutume eri Abakolosaayi, Obweetaavu bwokunyweera mu Kukkiriza, nga bwe gwaali omulamwa gwaffe, mwe twaakubirizibwa okwekebera tulabe obanga tuli mu kukkiriza; kubanga tumanyi nga Yesu Kristo ali mu ffe, Olwo tube abakakasibbwa. Nera tweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwaffe ne mu kuyitibwa kwaffe. Kubanga bwe tunaakolanga bwe tutyo tetulyesittala nomulundi nogumu. Nga bwe bwaali obuweereza bwOmutume Paulo bwe yakikomekkereza mu lunnyiriri 23.

Leero tulaba nga Paulo ayanja obuweereza obwo bwe yalina awamu ne banne, era obutugwaanidde fenna, Obuweereza Obutuukiriza Mu Kristo Yesu.