Amakya ga leero nga twekkaliriza ekitundu kye twatandika omulundi oguwedde, tukimalirize bulungi, nsaba tuddemu tukisomemu.
Era mu bufunze, okkwaasaganya nebyo twaali tulabyeyo mu Baruumi 2:17-24, ezaatubuulira ku bukakafu bwAbayudaaya-Abaebbulaniya okuba nti be beesigisibwa amateeka mu kusooka, basobole okuba abakulembeze babazibe bamaaso, era abasomesa, kyokka ne bateesomesa bulungi bbasobozesa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwaabwe.