Abaebbulaniya 4:14 – 5:10 “Yesu Kristo Ye Kabona Waffe Asinga Obukulu.”

Amakya ga leero mu kweyongerayo kwaffe okusomesebwa mu kitabo kyebbaluwa eri Abaebbulaniya, mwe tukalaatirwa obusukkulumu bwa Mukama waffe Yesu Kristo ku bonna, era byonna, wonna, emirembe gyonna.

Oluvannyuma lwokukakasibwa nti mu Yye mwe muli ekiwummulo ekyannamaddala ate ekyemirembe gyonna, nga mukulu Charles Mwanga bwe yasomesa omulundi oguwedde. Okuviira ddala mu kitundu kye twaalimu kwolwo okweyongerayo okutuusa mu ssuula eyekkumi, kye kitundu kye twandiyise ngomutima gwebbaluwa eno, mwe tulagwa obukulu bwomulamwa omukulu gwobulamu bwa Mukama waffe Yesu Kristo, nga kwe kwaali okuba Kabona Asinga ate owemirembe gyonna eri Mukama Katonda Kitaffe na buli muntu yenna eyali atondeddwa era alitondebwa. Gano ge masekkati gekitabo era mwe muli ekitundu ekyokusatu kwebyo ebitaano ebikulu byokubuulirirwa kwebbaluwa eno Omwoyo Mutukuvu mwatubuulirira nga bwe yali akola eri Abaebbulaniya ngoluvannyuma lwokubalaga Yesu Kristo bwe yali asukkuluma ku Musa, nga nobuweereza bwe bwaali busukkulumu ku bwa Musa. Tulagwa nate bwe yali asukkuluma ku Alooni mukulu wa Musa eyali Kabona Asinga eyasooka era omwaava olulyo lwa bakabona abaalondwa Mukama Katonda kkennyini