Mu kweyongerayo kwaffe mu musoobo eri enkomerero yekitabo kyaffe ekitubeeredde ekiwoomu ennyo okuyigirizibwaamu ekyebbaluwa eri Abaebbulaniya, amakya ga leero twongera okusomesebwa mu mpisa omuwandiisi ze yayagala okusowolayo okukalaatira abasomi be nga naffe kaakano mwe tutwaalibwa ezitugwaanidde olwobukulu bwekitiibwa kya Yesu Kristo gwe tukkiririzaamu nga Kabona waffe Omukulu era omubeezi wendagaano empya eyolubeerera eyentabagana yaffe ne Mukama Katonda Kitaffe.