Okwagala okwogerwako nti mwagalane ngaboluganda kuva mu kuba nti bonna abaasembeza Yesu Kristo bafuuka abaana ba Katonda mu Kristo Yesu. Yokaana 1:12.
Okwagala bwe kuba nga weekuli, kweyongere. Okwagala tekuuliiko kkomo nti kutuuka ne kuggwaayo oba ngabaagalibwa baweddeyo; naye kweyongera kubanga buli lukya eriyo abanoonya okwagalibwa.
Gyetubeera, ku mirimu gyaffe, mu kkanisa, mu byobufuzi buli wonna we tutunula tulaba ebituli mu bulamu bwabantu ebyetaaga okuzibwa nokwagala.