Abaebbulaniya 10:1-18 “Olw’ekiweebwaayo Ekimu Tuweebwa Obutuukirivu Obw’emirembe Gyonna.”

Mu kitundu mwe tusemba okubuulirwa ku misingi gyokumanya nokutegeera kwobusukkulumu bwa Yesu Kristo ku byonna, mwe tubuulidwa omuddiŋŋanwa ku bwa Kabona bwe Obukulu obwenjawulo ku bulala bwonna, nemiganyulo gyabwo emiyitirivu ku bwa kabona obulala bwonna.

Leero nate tukakasibwa ekintu ekikulu ennyo okumanya, ekyayogerwa mu ssuula 9:11,12 nti Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu owebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu nokutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogwente ennume, naye yayingira mu Watukuvu wAwatukuvu omulundi gumu gwokka nomusaayi gwe; bwatyo ye yennyini natufunira obulokozi obutaggwaawo.

Default image
admin