Mu kweyongerayo kwaffe mu nsomesa zaffe mu kitabo kyebbaluwa eri Abaebbulaniya, nera gye tuli, twaaleka tukakasiddwa obusukkulumu bwa Yesu Kristo ku Kabona yenna Asinga Obukulu eyali abaddewo naddala Alooni eyatongozebwa Mukama Katonda kkennyini okuba Kabona Asinga Obukulu, nokuba nti yalina ebisaanyizo ebyamugwanira okuba Kabona Waffe Asinga Obukulu womu ttuluba lya Merukizeddeeki.
Kyalina okunnyonnyola obulungi naye olwebyo bye tulaba leero, waaliwo kye baalina awamu naffe okuba, okusobozesa okutegeera nokugasibwa kwebyo ebyaali byogerwaako.