Leero tunaalaba empagi z’okusaba okuwanguzi oluvannyuma lw’okumanya n’okutegeera nti ffena okuba n’okusaba okuwanguzi kitweetaagisa okuba abamalirivu okutambulira mu butuukirivu obusibuka ku mitima gyaffe egitaliimu bukuusa, bukaawu, bukyaayi, malala, bukaba, na byonna ebitaaganye ssaala zaffe kuweesa Mukama kitiibwa ekimugwaanidde. Kubanga by’ebireetera essaala zaffe obutajjuzibwa kukkiriza kuzigwaanidde kuba na maanyi.
Nga bwe twaakiraba ogwaggwa, obulamu obw’obutuukirivu nate busikiriza abasekeeterezi, ab’obuggya n’obukyaayi gye tuli, kyokka ekitalina tujja ku mulamwa wabula ottunyweeza ng’akabonero nti ddala tuli ku mulamwa, tusobole okuwangulira ddala mu nsi muno, ku lwa Mukama Katonda waffe.
Nga bwe gwaali eri Danyeri mu bye tubuulirwa mu ssuula eno.