Olubereberye 7 “Eby’okwetegereza Mu Kulokolebwa Kwa Mukama Mu Mataba”

Nga bwe nnali nsuubizza omulundi ogwaggwa nga tusomesebwa mu ssuula eno ey’omusanvu, lwe twaalaba “AMATABA OMWAALI EKISA N’EKIRUYI BYA MUKAMA EBIYITIRIVU.” Neebaza Mukama atusobozesezza leero okuba nti tunaabaako bye tweetegereza mu kulokolebwa Mukama mu mbeera nga Nuuwa n’abe’enju ye mwe baali.

Ng’enkinsikiriza okkola ekyo kwe kulabulwa kwa Yesu Kristo gyetuli nga bwe yagamba bwe twaalaba mu Mattayo24:37 – 39 era ne mu Lukka 17:26 – 29, ng’obukakafu nti kyaaliwo ekiseera eky’ekitalo ekyaleetera enkyuukakyuuka ez’amaanyi ennyo ku nsi; obusiriivu bwa’abantu ne bafa, awamu na buli kiramu kyonna, ate n’endabika n’embeera z’okunsi ne zikyuusibwa nnyo…….