Yokaana 8;1 – 29 “Yesu Kristo Ky’ekitangaala Ky’ensi.”

Olukalo lwa Africa, lwaalwa nga luyitibwa “Olukalo lw’ekizikiza”(The Dark Continent), ndowooza olw’obutamanya ku kyayitibwanga “Ekitangaala Ky’enjiri”, eyaleetwa abazungu, awamu n’okuyigirizibwa okusoma n’okuwandiika, – eby’engigiriza, n’enkulaakulana ezaabivaamu, eky’akabi ate ezaalimu n’eby’obufuzi awamu n’empisa ebitaali by’enfaanaanyirizo nnungi eri engeri z’ekitangaala nga bwe tumanyi kubanga bituleetedde okweyongera mu mpitambi z’ekizikiza ky’amaanyi g’ekizikiza, g’oyo amannyiddwa nga katonda w’ensi eno, olwo n’okyekkennenyeza ddala nti bweguba bwegutyo ddala enkalo z’ensi zonna matwaale g’ekizikiza sso ssi Africa, kye kiretera Yesu Kristo okuba Ekitangaala ky’ensi nga bwe ye yanjulira abaali mu Yekaalu mu biro bye mu mbaga y’ensiisira.

Default image
admin