Yokaana 11 “Yesu Kristo Kwe Kuzuukira N’obulamu II”

Mu kwongera okusomesebwa mu ssuula yaffe ey’enjiri ya Yokaana ey’ekkumi n’emu, ku mulamwa omukulu Yesu Kristo Kwe Kuzuukira N’obulamu, leero tugenda kulaba omulamwa gw’Okwagala Okutubeesa mu Kuzuukira N’obulamu, nga bwe twaakiraba omulundi ogwaggwa nti mu kabonero ak’omusanvu akaayatiikiriza obuweereza bwa Yesu, ak’okuzuukiza Laazaalo eyali afudde ennaku ennya, Yesu mwe y’eyoleseza okuba Okuzuukira N’obulamu, era ng’ebyabaawo mwaalimu okulukibwa kw’emilamwa emikulu gy’okukkiriza n’okwagala, ng’omulundi ogw’aggwa twasomesebwa ku Kukkiriza okututambuliza mu Kuzuukira n’obulamu, mu bufunze ku lw’abataaliwo n’okwejjukanya