Mu kitundu ekyenkyuuko y’olugero lwa Yokaana Omutume ku bulamu bwa Mukama waffe Yesu Kristo, nga bwe twaategeezebwa essuula zino eyekkumi n’emu awamu n’eno ey’ekkumi nabbiri bwe ziri, nga essaawa oba ekiseera kye ekyaali tekinnaba nga bwe twaagambwa mu ssuula ey’okubiri, n’ey’omusanvu, kaakano kituuse, okukakasa nti ye yalina obuyinza okuwaayo obulamu bwe nga bwe yagamba mu ssuula 10:18, era nti wadde bo Abafalisaayo baali baagala akwaatibwe bukwaatibwa aggalirwe okutuusa okuggwa kw’ebiro by’embaga y’okuyitako. Yye nga ssaddaaka Ya Kitaffe entuufu era ey’olubeerera, ddala yalina kuweebwaayo ku kiro ky’okuyitako kya ssabbiiti eno eyali etuukiriza obunabbi bwonna obwa Daniyeri awamu ne Isaaya ne Zakaliya, n’obwa Zabbuli za Dawudi.