Mu bbagumya n’omuddiŋŋano gw’ebigambo mu kaseera Yesu ke yalina okuba ng’asiibuliramu Abayigirizwa be era minywaanyi gye, kyokka nga bwaabaggumiza amazima, tulaba nti tekyamulobera bateekateekera buvune bwe baali boolekedde okuva eri ensi eno emannyiddwa ng’amatwaale ga Setaani oyo omulabe wa Yesu nnakinku era ow’obulabe eri byonna eby’obwakabaka bwe naddala ababaka be abaali balekwaawo okuba abasigire be ku nsi eno.