Danyeri 11:1 – 20 “Obunnabbi Bw’ebyafaayo Ebyatuukirira”

Tuli mu kitundu ekisembayo mu kitabo kya Danyeri, eky’obunnabbi obwamuweebwa Mukama, ekyatandikira mu ssuula ey’ekkumi omwaali embeera ezaleetera era neziteekateeka Danyeri okufuna obunnabbi bw’okwolesebwa obuttottolwa mu ssuula eno ey’ekkumi n’emu okutuusa mu y’ekkumi n’abbiri. Kino ky’ekitundu ekisinga okuwakanya ekitabo kya Danyeri ng’ekyaali ekituufu olw’okutuukirizibwa kw’obunnabbi bw’amu mu byafaayo byaffe mu butereevu bw’obulambukufu bw’okuweebwa, gy’obeera nti Danyeri yali mulimba oba nti Mukama Katonda teyayinza kuwa Bunnabbi nga bwe tusoma mu kitundu kino. Kyokka nga tumanyi nti ensonga enkulu emu eyandiweesezza Danyeri bino abiwandiike kwe kuba nti mu myaka mwe byasinga okutuukirizibwa oluvannyuma lw’ebyaasa ebisatu temwaali nnabbi oba okuwulirizibwa okuva eri Mukama, ekitundu mu Baibuli zaffe wakati wa Malaki ne Matayo, oba endagaano enkadde n’empya eky’emyaka ebikumi bina. Ng’ebyaaliwo ebisinga mu biro bino bisangwa mu bitabo by’Abamakabii (I&II).

  • Share

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *

  • Name
  • Email
  • Website
  • Comment
  •  
  • You may use these HTML tags and attributes:

    <a href="" title=""> <abbr title=""> <acronym title=""> <b> <blockquote cite=""> <cite> <code> <del datetime=""> <em> <i> <q cite=""> <s> <strike> <strong>

  •